SSEGIRINYA NE SSEWANYANA: Basindikiddwa mu kkooti enkulu ku gw’obutemu
Kooti esokerwako e Masaka kyadaaki esindise ababaka Allan Ssewanyana ne Muhammed Ssegirinya mu Kkooti enkulu bawerenembe n'ogwobutemu.
Kino kidiridde omuwaabi wa gavumenti Richard Birivumbuka enkya ya leero okuwaawo obujjulizi bwagamba nti buluma ababaka bano bombi okugulirira omwami ategerekse nga ye Wilson Ssenyonga atte abantu mu bitundu bya Lwengo ng'omu ku kawefube w'okulwanirira obuwanguzi bwabwe.
Kyoka bannmateeka b'ababaka abakulembeddwamu Loodi Meya Erias Lukwago, basigadde beemulugunya olw'okubasuulako olutuula lwa kkooti eno mu ngeri ey'ekibwatukira songa n'oludda oluwaabi lwagaanye okubawa obujjulizi kwerugenda okusinziira okuluma abantu babwe.