SSEGIRINYA NE SSEWANYANA: Ab’ekitongole ekiramuzi boogedde ku by’okubawozesa
Ekitongole ekiramuzi kigamba nti kigenda kusinziira ku alipoota enaava mu makomera ababaka Allan Ssewanyana ne Muhammad Ssegirinya gyebali okusalawo okuba ng’emisango gyabwe giwulirwa bunnambiro. Olunaku lw’eggulo, kkooti esookerwako e Masaka ababaka bano n’abantu abalala bwebavunaanibwa yabawereezza mu kkooti enkulu okuwulira emisango egibavunaanibwa kutandiike. Kyokka mu mateeka kino tekitegeeza nti okuwulira emisango kuno kunatandikirawo.