Ssegirinya akomyewo: Waliwo aba NUP b’akukkulumidde
Omubaka wa Kawempe north Muhammad Ssegirinya kyadaaki akomyewo mu ggwanga oluvanyuma lw’omwezi kumpi mulamba nga ali mu ggwanga lya Netherlands gye yani genze okuluna obujjanjabi.
Okugenda kwa Ssegirinya kwavaako ebigambo bingi, bweyavaayo n’akola akatambi nga alumiriza nga palamenti n’ekibiina kye ki NUP bwe bamulekeredde mu kaseera ak’obulwadde.
Nga yakatonnya kunok, Ssegirinya atandise nakwambalira abamu ku bannakibiina kye ki NUP abaali bassa akabuuza ku ngeri gye yakwatamu ensonga z’obulwadde bwe.