Ssaabaminisita Nabbanja yeetabye mu kulonda abakulembeze ba NRM e Kakumiro
Ssabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja era nga ye Mubaka omukyala owa disitulikiti ye Kakumiro naye yeetabye mu nteekateeka y’okulonda abakulembeze b’ekibiina ki NRM ku byalo. Ono atubuulidde ng’abangi ku beesimbyewo mu kitundu kye bwe bakkaanyizza ku muntu omu ow’okubakulembera era ng’awamu tebateganye na kulonda.