Ssaabaduumizi asiimye ba mbega ky ky'okulwanyisa enguzi
Ssaabaduumizi wa Poliisi mu ggwanga, Abas Byakagaba agumizza ekintongole kyaba mbega wamu n'abawaabi ba gavumenti obutatya kwenganga bakungu ababa beenyigidde mu bikolwa by'obuli bw'enguzi.Nga ayogerako mu nsisinkano ye n'ab'ebitongole bino ku Kitebe kya bambega e Kibuli, Byakagaba ategeezezza nti musanyufu olw'okuba nti ebitongole bino bitandise okukwata ku bakungu abenyigira mu kulya enguzi abaali balowooza nti banene.