RASHID KAMOGA :Poliisi enoonyereza ku ngeri omukungu wa UNRA gyeyafuddemu
Poliisi etandise okunonyereza kunfa ya Rashid Kamoga abadde omukozi mu kitongole kya UNRA, eyatwaliddwa abantu abatannamanyika ku Doctors Hospital e Sseguku ng'amaze okuffa nebamusulaawo nebadduka. Kigambibwa nti Kamoga mu makaage yavuddewo saawa 10 ez'akawungeezi k'olunaku lweggulo oluvanyuma lw'okukubirwa essimu omuntu ataategeerekese. Polisi etegeezezza nga bweri mu kuwenja abaasudde omulambo guno mu ddwaliro.