RAILA ODINGA: Anaayitawo ku mulundi gwe ogwokutaano nga yeesimbawo
Raila Amolo Odinga y'omu ku batunuulidddwa ennyo okuba n'enkizo okuwangula akalulu k'omukulembeze w'eggwanga lya Kenya era nga guno gwakutaano nga yeesimba ku kifo kino. Odinga kuluno yaggyidde ku tiketi ya kibiina ki Azimio la Umoja Katulabe ebibadde mu lugendo lw'ono okutuuka lwatuuse wano.