Poliisi yaakukolagana n’amagye okukuuma emirembe mu kamyufu ka NRM
Poliisi etubulidde nti egenda kukolagana n’amaggye g’eggwanga aga UPDF mu kukakasa ng’okukola kw’akamyufu ka NRM kubeera kwa mirembe newankubadde waliwo abazze basaba nti amaggye gajjibwe mu nsonga z’okulonda.Ayogerera poliisi Kituuma Rusoke agambye nti bbo nga poliisi balina olukusa olukolagana n’amaggye okukakasa ng’okulonda tekubaamu kuyiwa musaayi naddala mu bitundu ebimu gyebeekengera.