Poliisi positi z’e Masaka ezaassibwawo mu biseera by’ebijambiya zeeraliikirizza abakulu
Ekitongole kya Poliisi ekivunanyizibwa ku bizimbe bya poliisi ki police estates department kyeraliikirivu nti poliisi yandigwa mu mabanja gensimbi zobupangisa olwapoliisi posts ezatondebwawo okumukumu mu bitundu bye Masaka mu biseera byebijambiya. Avunanyizibwa ku kulondoola ebizimbe bya poliisi, Christine Muvawala ategezezza nga bwebakizudde nti police posts ezimu bwezaatandikibwawo nga amateeka tegagobreddwa. Poliisi post zino eziwerera ddala 20 okuli eze Kabonera, kiziba, kisaaka, nendala zizitoweredde poliisi nga emsimbi zokusasula ezobupangisa kati zibeekubya mpi sso nga bannayini bizimbe n'ettaka police post zino kweziri baagala ezaabwe.