Poliisi n’amagye begaanye ekiwamba-bantu ekisusse
Negyebuli eno eyali omwogezi w'abambega ba Poliisi Charles Twine tannamanyibwako mayitire. Twine era nga y’akulira bambega ba poliisi ku Palamenti agambibwa okuba nga yasemba okulabikako ku kitebe kya Poliisi e Naguru ku lwokusatu lwa wiiki ewedde.Mu lukungaana lwabamawulire Poliis lwetuuzizza e Naguru olwaleero, omwogezi waayo Kituuma Rusoke, ategeezezza nti tebalina kyebamanyi ku mayitire ga Twine .Omulala atamanyiddwako mayitire ye Munnamateeka Abed Nasser Mudyobole ng’ono naye Poliisi egamba temanyi mayitire ge