Paul Hannington Suubi: wuuno omulabirizi wa East Busoga
Paul Hannington Suubi atuuziddwa ng’omulabirizi wa East Busoga, nga kati ye mulabirizi asookedde ddala ow'ekitundu kino, era mu ngeri yemu obulabirizi buno nabwo butongozeddwa nga bwa 39 obw’ekanisa ya Uganda. Ssaabalabirizi wa Uganda Stephen Kaziimba Mugalu yakulembeddemu emikolo gino. Emikolo gibadde ku Kanisa ya St. Stephen's Cathedral Naluwerere.