PALAMENTI YA EAST AFRICA: 15 be basunsuddwa olwaleero, aba NRM, DP, ne UPC ba nkya
Abantu 15 bebasunsuddwa olwaleero okuvuganya ku bifo omwenda eby'ababaka abakikirira Uganda mu Palamenti y'omukago gw'amawanga ga East Africa. Ng'ogyeeko okutwala empapula zabwe ez'obuyigirize, bano basasudde obukadde 3 n'ensimbi ez'okwewandiisa ezitagenda kubaddizibwa. Bano, beeyamye okutumbula eby'obusubuuzi, okunoonya obutale wamu n'okwongera amaanyi mu nkolagana y'amawanga agali mu mukago.