Ow’emyaka 16 afumitiddwa ebiso e Bukomansimbi
Poliisi mu district ye Bukomansimbi etandise omuyiggo gw’abantu abatanategeerekeka abakakkanye ku muwala ow’emyaka 16 nebamutta. Kitegeerekese nga omuwala ono yasangiddwa mu kinaabiro ngaanaaba omutemu naamufumitafumita ebiso mu mugongo ebyamujje mu bulamu bwe nsi.