OMWANA ALINA EBITUNDU EBITENKANA: Abasawo baliko bye bannyonnyodde
Ku lwokubiri lwa wiiki eno twakulaga eggulire ly’omwana ow’emya 14 ng’ebitundu bye eby’omubiri tebyenkanankana. Okusinziira ku bakugu, embeera y’omwana ono eva ku nkyukakyuka eziyiinza okubaawo mu kiseera ng’omwana ono akolebwa, eggi werisisinkanira enkwaso. Bagamba nti ono yetaaga okwanguyira okulongoseebwa okusobola okutereera