Omuyambi wa diifiri alamudde ogwa Villa ne UPDF afudde addusibwa mu ddwaliro
Banabyamizannyo bagudemu ekyekango mu kisawe e Wankulukuku mu mupiira gwa liigi y’eggwanga, sports Villa bwebadde esamba ne UPDF, omuyambi ya difiri Peter Kabugo batondose nagwa mukitundu ky'omuzannyo eky'okubiri mu dakiika eye 73.Kitegerekese nti ono abadde adusibwa mu dwaliro e Mulago nassa ogwekomerero.Katulage nga embeera bwebadde nga abasawo ku kisawe bagezaako okumuwa obujanjabi obusokerwako