Omuwala eyafiira e Saudi Arabia aziikiddwa e Masaka
Ku ntandikwa y’omwezi guno kwakulaga famile eyali erajana okuzza omulambo gwa muwala waabwe eyagenda okukuba ekyeyo mu ggwanga lya Saudi Arabia n’afiirayo kyoka nga n’enfa ye tetegeerekeka. Omulambo gwa Zaituni Zawedde kyadaaki gwakozeddwawo kuno era n’eguziikibwa ku kyalo Busense mu district ye Masaka.