Omuti 'Nakayima' ettabi ly’agwo lisse abantu bana
Kikakasiddwa nti abantu bana, bebafudde, oluvannyuma lw'ettabi okuwaguka ku muti gw'ebyafaayo oguyitibwa Nakayima nrigwira abantu abasoba mu kkumi. Omuti guno gusangibwa mu bitundu by'e Mubende era ng'ejega yaguddewo ku ssaawa nga 12 ez'okumakya.Abantu nno abaafunye obuzibu,babadde kitundu kw'abo ababadde besombodde okubeerawo ku mukolo gw'okusiima maama Nakayima ogubadde gusuubirwa okubaawo olunaku lw'enkya.Ab'ebyobuwangwa mu kitundu batubuulidde nti Nakayima si musanyufu era nga bino bibadde byalagulwa dda.