Omuti gwa 'Nakayima', ekifo kigaddwa olw’ebyabaddewo
Tukitegedde nti ekifo awasangibwa omuti gwa Nakayima e Mubende kigaddwa okumala akaseera akatali kagere oluvannyuma lw'ettabi okuwogokako ne gugwira abantu 10, bataano ku bo nebafa. Wabaddewo olukiiko olubiddwa amangu ku kyalo Boma, omuti guno gye gusangibwa okusala amagezi ku kiki ekiba kinnako oluvannyuma lw'akabenje akaaguddewo. Ab'ebyobuwangwa bbo bakyakalambidde nti waliwo abantu ababadde bagenda ku muti guno nebakolerako ebintu ebyomuzizo nga ate tebakkiriza kuwabulwa.