Omuserikale eyeezibika amabugo, namwandu agamba gaali gaakuweerera baana
Mu District y’e Nakaseke eyo eriyo omukyala alumiriza omukungu wa Poliisi okulemera sente z’amabugo zagamba nti baali bazimuwa okulabirira abaana oluvanyuma lwa bba okufa.Jane Kemigisha y’alumiriza mulamu we Assistant Commissioner of Police Mugisha Paul Kansiime okulemera sente z’amabugo obukadde 21, kati omwaka mulamba ekyaviirako abaana be okuwanduka mu ssomero.Wabula Afande Mugisha ebimwogerwako ebimu absambazze ng’agamba nti sente ezo zaali zakuyamba mu nteekateeka z’okuziika n’ebirala. Herbert Kamoga y’alondodde ensonga eno.