Omusango gw’okutta Katanga, omukozi alumirizza omugenzi okukuba mukazi we
Okuwulira omusango gw'okutemula omusuubuzi Henry Katanga kutuuse ku mujulizi ow'e 16 ng'ono ye yali omukozi w'awaka George Amanyire.Ono ategezeezza kkooti nga ku lunaku Katanga lw'afa bweyawulira namwandu Molly Katanga nga awuttulwa emiggo emizibu nga ne Molly naye akuba omulanga ogutambika.Nti ono yakungaana abantu abalala bwe basula mu nju n'abategeeza ku bigenda mu maaso era bw'ayingira mu nju, yawulira Molly Katanga nga akabiira mu kinaabiro nga agamba nga bw'aggwamu omusaayi nti era yali atidde okufa.Kyokka ono mu sitatimenti ye eyasooka, yategeeza nti mu myaka 6 gye yali akoledde amaka ga katanga, yali tabawulirangako nga bayomba nti era n'eggulo limu ng'omugenzi tannafa, baali banywedde wamu ka ccaayi.Amanyire avunaanibwa gwa kutataaganya bujulizi oluvannyuma lw'ettemu eryakolebwa bweyaggyamu ebimu ku bintu ebikulu abanoonyereza bye baalina okutandikirako.