Omusango gw’okulonda kw’e Kawempe: Farida Nambi ebibuuzo bimutunuzza ebikalu
Faridah Nambi eyavuganya ku kifo ky’omubaka wa Kawempe North asanze akaseera akazibu okuddamu ebibuuzo ebimubuuziddwa bannamateeka ba Erias Luyimbaazi Nalukoola ku bujulizi bweyatwalira kkooti obugenda okukozesebwa mu musango gwe ogw’ebyokulonda. Nambi ayagala kkooti esazeemu obuwanguzi bwa Nalukoola era olwaleero kkooti lwetandise okutunula mu bujulizi bweyaleeta.