ENKAAYANA KU TTAKA:Waliwo family egumbye ewa RDC
Waliwo abatuuze okuva mu famire z’amirundi ebiri okuva ku kyalo Kabingo mu ssaza lye Lwemiyaga, abagumbye ku woofiisi ya RDC w’e Ssembabule nga bagamba tebalina weebegeka luba oluvannyuma lw’okusengulwa ku ttaka lyabwe. Bano nga buli omu azze n’abomu maka ge, balumiriza eyali RDC w’ekitundu kino Coleb Tukayikiriza okuteeka omukono ku kiwandiiko kwe baasinziira okubagoba ku ttaka kwe bawangaalidde okuva mu 1994.