Ebimu ku bikulu ebitunuuliddwa mu bbago lya UPDF
Ebbago lye tteeka li Uganda peoples Defence Forces Amendement bill 2025 lyakutandika okwekenneenyezebwa mu palamenti nga terinafuuka teeka mu butongole. Ekikulu mu bbago lino kwekuddiza kooti y’amaggye obuyinza obuwozesa abantu ba bulijjo singa basangibwa n’ebintu ebitwalibwa okuba nga bya bannamaggye. Kati tukubye tooki mu nongoosereza ezireeteddwa mu bbago lino eritanafuuka teeka.