Omusango gw’eyaggyibwamu ensigo gwongezeddwayo, embeera ya Nakintu mbi
Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Nakawa Ponsiano Odwori ayongezzaayo okuwulira omusango oguvunanibwa abakozi ba kampuni ya Nile treasure gate limited 5 ogw’okusalamu ensigo ya Judith Nakintu eyali yatwalibwa mu ggwanga lya Saudi Arabia okuba ekyeeyo. Kiddiridde fayiro y’omusango gwabano obutalabikako mu kooti. Okusinziira ku looya wabawawabirwa, guno mulundi gwa 4 nga file teretebwa mu kooti. Aba famile bategezeza nga bwebatakyalina buyambi kujjanjaba muntu wabwe.