Omupoliisi asse banne babiri
Poliisi eriko musajja waayo gw'ekutte agambibwa okukuba abantu babiri amasasi n'abatta mu kiro ekikeseezza olwaleero mu nkambi ya poliisi e Naguru. Alex Adei nga akola ne poliisi erwanyisa obutujju y'agambibwa okutta muganzi we Barbra Kongai ne Seeze Tumusiime nga naye abadde muserikale wa poliisi.