OMUKAZI EMMEKETE; Wuuno akola n’abasajja mu gw’okuzimba
Abakazi baangi abongedde okwenyigira mu mirimu egyali gimanyiddwa edda ng’egyaasajja. Ku kyalo Mulungi-Omu mu district y’e Nakaseke, waliyo omukyala, Esther Nabunya gwetusanze ngakola gwa kuzimba era ngakola n’abasajja nga 15 . Ekyewunyisa nti nga bwabeera nabo mu kuzimba era n’ebwekituuka mu by’okusula tabaawukanako, asula wamu nabo era ono talina embeera ya kwekisizza oba kiyite privacy ng’omukyala.