Omukazi asobeddwa, ssente ezijjanjaba omwana we eyakubwa amasasi tamanyi waakuziggya
E Lusanja mu division y’e Kawempe waliyo omukyala asobeddwa eka ne mu kibira nga tamanyi wa gyagenda kujja ssente okusasula eddwaliro eryajjanjaba mutabani we eyakubwa amasasi wakati mu kikwekweto ky'abebyokwerinda ekyali mu kitundu mwe babeera. Christine Ainembabazi agamba nti mutabani we Ibrah Kiddawalime ow'emyaka munaana yakubibwa amassasi mu lubuto ne mu kuggulu era amagye negeeyama okusasulira obujjanjabi bwe ekitannakolwa.