OMUGGALO KU MASOMERO: Bannannyinigo baakuteekawo SACCO enaabayamba nga waliwo obuzibu
Ekibiina ekitaba abatandisi b'amasomero g'obwananyini wano mu Ggwanga ki Proprietors of Private Educational Institutions Association in Uganda kigamba kyakutandikawo ekibiina ky'obwegasi ( SACCO ) ba member bakyo mwebanewolera nga ssente ku magoba amasaamusamu okwawukanako ne banka. Bino babyogeredde Masaka mu kawefuba gwebatandise ow'okubangula bananyini masomero g'obwananyini kubutya bwebayinza okwetegekeramu okugulawo ku ntandikwa y'omwaka ogugya. Kawefube wabwe wakubuna e Ggwanga lyona.