OMUGGALO GWA EBOLA: Aba boda-boda e Mubende bakukkuluma, bakyabalemesezza
RDC w’e Mubende Rosemary Byabashaijja alagidde ab’ebyokwerinda mu distulikiti eno bakomye okukwata abagoba ba bodaboda abeetikka emiggugu. Byabashaijja agamba nti gavumenti yawadde olukussa aba boda boda mu distulikiti eno wamu n’eye Kassanda okwetikka emiggugu wadde nga nabo bali ku muggalo ogwa Ebola. Byabashaijja era atangazizza n’ekuntekateeka y’okuddukirira abantu mu distulikiti zinno n’emmere nga bwekyakolebwa mu biseera by’omuggalo gwa Covid-19.