OMUGGALO E MUBENDE: Abasuubuzi basaba guleme kwongezebwayo
Nga ebula mbale ekitundu eky'omuggalo ogw'okubiri kiggweko mu distulikiti ye Mubende ne Kassanda, banneekolera gyange e Mubende baagala omukulembeze w'eggwanga aleme kubateeka mu muggalo mulala. Bano bagamba baabaggala tebeetegese nga kati nabo baagala beekolerere ku nsimbi mu biseera by'ennaku enkulu.