OMUDUMU GW’AMAFUTA: Abakanya eby’okukuzimba bagenze mu kkooti ya East Africa
Waliwo abakubye Gavumenti ya Uganda neya Tanzania mu mbuga nga baagala ziyimirize enteekateeka zaazo ez’okuzimba omudumu gwamafuta okutuusa nga ensonga z’okusasula abantu n’obutonde bwensi zikoledwako. Okuwulira omusango guno gwatandise ku lw’okusaatu lwa wiiki eno gyetukubye amabega ku kitebe ky'omukago gwa East Africa mu kibuga Arusha e Tanzania.