Omu afudde, abalala balumiziddwa mu kabenje e Kassanda
Obubenje bwa mirundi ebiri bugudde ku luguudo oluva e Mityana okudda e Mubende mu distulikiti ye Kassanda. Akabenje akaasoose kaguddewo ku ssaawa nnya ez'ekiro e Nalutuntu olwo ate akalala ne kabaawo ku ssaawa ttaano ez'ekiro e Bamunaanika.
AKabenje k’e Nalutuntu kafiiriddemu omuntu omu abalala mu bubenje bwombi ne bagendera ku bisago.