Oludda oluvuganya lukubye ebituli mu kabineeti empya
Ab'oludda oluvuganya Gavumenti balowooza nti baminisita abalondeddwa omukulembeze w'eggwanga mpaawo kipya kyebagenda kuleeta eri Ggwanga, wadde okugonjoola ebizibu ebiruma abantu naddala nga Museveni y'akyaali Pulezidenti. Bano bagamba nti abasinga ku bano baalondeddwa lwa buwulize bwabwe eri Museveni n'e NRM so si busobozi. Basekeredde n'abaliko banaabwe kyoka nebasalawo okwegatta ku gavumenti eri mubuyinza, nga kati basuuliddwa ebbali.