OLINA OKWEWOZAAKO: Yunivasite y’e Kyambogo etabukidde omumyuka w’agikulira
Ettendekero ly'e Kyambogo liwadde eyali omukozi waalyo Dr. Lawrence Eron eyali akola nga omumyuka wakulira Yunivasite eno ennaku 14 okwewozaako ku bigambibwa nti yakabassanya omwana atanneetuuka aliko obulemu bw'obutalaba.Kino kiddiridde yunivasite ono okumala emyezi 2 ng’enoonyereza ku nsonga eno okuva omwana ono bweyeekubira enduulu eri poliisi n’ebitongole by’amawulire nga NTV.Singa kino Dr. Lawrence takikola, yunivasite yakweyambisa amateeka agagyifuga okumukangavvula. Kigambibwa nti wabula ono yadduka dda mu ggwanga.