OKWONGEZA EBISALE BY’ENTAMBULA: Minisitule y’ebyentambula ya kuvaayo n’ekyenkomeredde
Ministule y’ebyentambula yakuvayo mu kiseera ekitali kyawala ne ensimbi ezirina okusasulwa abasaabaze abakozesa mmotoka ez'olukale nga takisi ne bbaasi. Kino wekigidde nga abagoba ba takisi basisinkana lunaku lwankya okusalwo ku nsimbi zebanasaba abasaabaze naddala mu kiseera kino nga amafuta gekanamye. Bano baatutegeezezza olunaku lweggulo nga bwebagenda okwongeza ebisale byentambula.