OKWEWOLA SSENTE Z’ENGUUDO: Ababaka balemeddeko ku ky’okufuna obukakafu ewa Museveni
Obuwumbi enkumi ebbiri mu bibiri ezigenda okwewolebwa okuddaabiriza enguudo mu bitundu bya Kampala n’emiriraano ziyinza okulwawo okufunika .Ababaka ku kakiiko akakola ku nsonga z'obwa Pulezidenti bategeezezza nga bwebetaaga obukakafu okuva ew'omukulembeze w'eggwanmga nti ssente zino zakkirizibwa okwewolwa.. Wadde ababaka bategeezezza nti tebasobola kulemesa kwewola ssente zino , bagamba nti ate tebasobola kumala gakikola awatali mitendera giteekeddwa okugobererwa.