OKWETANGIRA EBOLA: E Kassanda abasima zzaabu beetadde mu muggalo
Mu kaweefube w’okutangira okusaasaana kw’obulwadde bwa Ebola mu distulikiti y’e Kassanda, abantu abakola mu birombe ebiri mu distulikiti eno beetaddeko omuggalo gwa myezi ebbiri. Bano bagamba nti bakwekuumira mu birombe awatali muntu yenna kufuluma wadde okukkiriza omuntu yenna okuva ebweru okuyingira mu birombe bino mu bbanga lino eriteeredwaawo. Ensalawo eno eyanirizidwa abakulembeze n’abebyobulamu mu distulikiti eno abali mu kaweefube w’okulaba ng’obulwadde bunno butuulibwa ku nfeete.