Okwetaba mu kamyufu ka NRM, mu bifo ebimu abalonzi tebajjumbidde bulungi
Mu Kampala oyinza okugamba nti okulonda kwa NRM okw'obukulembeze bw'ebyalo tekujjumbiddwa bulungi nga bwekyetaagisa. Mu bitundu ebyenjawulo gye tutuuse, abantu babadde batono era nga tutegeezeddwa nti kyandiba nga kivudde ku nkuba ekedde okutonnya mpozi n'okukereewa kwa Yellow Book ebadde erina okwesigamwako mu kulonda.Nga bwegutera okubeera ku bululu obw’enjawulo akalulu kano nako tekabuzeemu buvuyo obutonotono .