OKWESENZA KU TTAKA: Abeesenza ku lya musigansimbi e Kyangwali bafuumuddwa
Ab’ebyokwerinda bagobye abatuuze abawera emitwalo ebiri ababadde ku ttaka ly’e Kyangwali gyebagambibwa okwesenza. Bano babadde balitemako emiti, okwokyako amanda n’okulimirako. Kigambibwa, musigansimbi owa kampuni ya Hoima Sugar Limited ettaka lino yalifuna ku liizi ya myaka 99 okuva ku Bukama bwa Bunyoro-Kitara abantu ne balyesenzako.