OKWERINDA EKIRWADDE KYA EBOLA: Gav’t eragidde abayizi bawummule nga 25 omwezi guno
Minisitule y'ebyenjigiriza eragidde amasomero okuviira ddala ku nasale okutuuka ku siniya okulaba nga olusoma lwa ttaamu eno era olukomekkereza omwaka luggalwawo nga enaku z'omwezi 25 omwezi guno. Kiddiridde olukiiko lwa ba minisita okukkiriza okusaba kwa minisitule y'ebyobulamu , okuwummuza abaana mu bwangu okusobola okutangira okusaasana kwe kirwadde kya Ebola. Abayizi era baakuwummulira mu mitendera okusinziira ku biragiro ebinaaba birambikiddwa. Kyokka abazadde kino tekibasanyudde.