OKWERINDA COVID-19: Nabbanja asabye bannayuganda okwekuuma
Ssaabaminisita Robinah Nabbanja asabye bana Uganda okwongeramu amaanyi mu kwerinda ekirwade kya covid 19 Naddala akawuka akapya aka Omicron akasasaana ku speed, kisobozese egwanga obutaddamu kuzingama. Nga ayogera nebannamawulire ku myezi omukaaga gyamnaze mu ofiisi, Nabbanja era ayagala wabeewo etteeka eriziyiza okusomba abantu okubagya mu distulikiti emu okugenda mu ndala mi biseera by'okulonda.