OKWERINDA COVID-19: Ab’ebyobulamu battukizza okukunga bannayuganda
Minisitule y'ebyobulamu ezzeemu okukukunga bannayugana okwerinda covid-19 nga bakwata ebiragiro ebyayisibwa ab'ebyobulamu gyebuvuddeko omuli okwambala masiki, okunaaba mungalo okwewa amabanga n'ebirala. Kitegeerekese nti omuwendo gw'abakwatibwa ekirwadde kino gutandise okulinnya. Kyokka abakulu mu minisitule eno bagamba nti beetegefu okwanganga embeera y'ekirwadde kino.