Okuzza obujja endagamuntu, abali e Bunaayira baakuwandiisibwa okutandika mu gw’omunaana
Ekitongole ekivunanyizibwa kukuwandiisa Endagamuntu ki NIRA, kitaddewo Okuva nga ennaku z’omwezi 18, omwezi ogw’omunaana omwaka Guno, okutandika okuza obugya Ndagamuntu eri Bannauganda abali emitala w’amayanja.Wabula ekitongole kirabudde abo bonna abaakyusa obutuuze nga batuuse ebweeru, obuteetaba munteekateeka eno, kuba bwebanakwatibwako, bagya kuvuunanibwa.Kuludda olulala poliisi ekyakonkomadde n’obukadde 50 bweyateekawo kkumuntu yenna anabatuusa kuddoboozi eryafulumizibwa kumutemu agambibwa okutta abagalana ababiri Mumaka gaabwe Entebbe.