Ebyava mu kamyufu ka NRM, akakiiko enkya lwe katandika okukola ku kwemulugunya
Abakulu mu kibiina ki NRM batubuulidde nti akakiiko akagenda okukola ku misango gy’abeemulugunya ku byava mu kulonda baakufuba okulaba nga buli muntu afuna ensala mu nnaku musanvu zokka okuva ku lunaku omusango lwegunaawulirwa.Bano bagamba nti bagenda kukola butassa mukka butassa mwoyo era nga emisango 51 gyegyokukolwako buli lunaku , kyoka nga beesigama ku bujjulizi obwesigika sosi kuteebereza.Kyokka bano batugambye nti tebanafuna yeemulugunya ku kamyufu ka bakulembeze ba gavumenti ez’ebitundu okwabaddewo sabiiti ewedde.