Okufera musigansimbi , bana bagguddwako emisango, basindikiddwa Luzira
Waliwo abasajja bana kkooti b'esindise ku alimanda e Luzira oluvannyuma lw'okubaggulako emisango egyekuusa ku kugezaako okufera musigansimbi omugwira n'ekigendererwa ky'okumubbako obukadde bwa ddoola buna n'emigwalo kyenda nga muzakuno bwe buwumbi nga 17 nezigwamu. Abasajja bano kuliko Charles Mulyansaka omutuuze w'e Kitala -Entebbe , Moses Mwesigwa, Moses Seruma ne Peter Kathumu nga bano beyanjula eri musigansimbi ng'abakozi mu woofiisi ya Pulezedenti abatuula ku kakiiko akagaba kontulakiti.