OKUYIMIRIZAAWO ABABUNDABUNDA: World Vision etandise okubatendeka mu mirimu egivaamu ensimbi
Nga Uganda ekuza olunaku lw'abanoonyi b'obubudamu olwaleero, kaweefube w'ebitongole ebibavunaanyizibwako wakulaba ng'eri ki gye bayinza okuyambibwa okweyimirizaawo. Ekimu ku bitongole ekiri mu nteekateeka eno kye ki World Vision nga kino kitandise okutendeka ababundabunda emirimu egyivaamu ensimbi ssaako okubawa entandikwa.Ng'omusasi waffe John Cliff Wamala bwagenda okutulambululira,Kaweefube ono atandikiddwako mu nkambi z'abanoonyi b'obubudamu omuli eya Omugo ne Rhino Camp mu Disitulikiti eya Madi Okollo ne Terego.