OKUTUUZA OMULABIRIZI W’E NAMIREMBE: Enteekateeka za Moses Banja ziwedde
Enteekateeka z’okutuuza omulabirizi w’obulabirizi bw’e Namirembe omugya Rev. Canon Moses Banja ziwedde.Okusinziira ku lukiiko oluteesiteesi, omukolo gw’okutuuza Rev. Banja gugenda okuyindira ku lutikko e Namirembe olunaku lw’enkya nga gwakutandika ku ssaawa ssatu ez'okumakya.Pulezidenti Yoweri Museveni yayitiddwa ng'omugenyi omukulu ku mukolo guno.