OKUTUNDA MASIKI KU NGUUDO: Baabano abaana abazuukuka ku bunyonyi, bwavu ye kanaaluzaala
Okuva Covid lw’eyakola olulumba olwasooka, omulimu gw’okutunda masiki gwacaaka era abenyigira mu mulimu guno kuliko n’abaana. Abazadde bangi naddala mu byalo by’omu Kampala eby’enzigotta embeera gye balimu ey’ebyenfuna mbi ddala kale nga bwe baba baliko bye bakola okunoonya ssente, n’abaana babasindika ku nguudo okutunda masiki babeeko kye bafunayo. Embeera weeri kati, n’amateeka agatangira abaana okukola emirimu nga gino, tegakyatunuulirwa