OKUTUMBULA EBY’OBUVUBI: Minisita Adoa ayagala obukiiko bw’okunnyanja bulondebwe
Minisitule ekola ku by’obuvubi ayagala obukiiko bw’abavubi buteekebwe mu nkola okulwanyisa envuba embi kisobozese ne government okubaako engeri gyeyamba abavubi nebikozesebwa. Minister omubezi ow’ebyenvuba Hellen adoa agamba kibafuukidde kizibu okuyamba abavubi sekinoomu olwengeri gyebakolamu emirimu etali nambulukufu bulungi. Ono asisinkane abavubi n’abakulira eb’yenvuba okuva mu districts ezenjawulo.