OKUTULUGUNYA ABASAJJA: Waliwo akukkulumidde poliisi obutafa ku misango gyabwe
Waliwo omusajja akukkulumidde poliisi okwesuulirayo oggwanagamba ku misango egiroopebwa abasajja ababa batulugunyiziddwa abakazi. Lawrence Gidudu nga Mutuuze w'e Bulamu e Gayaza mu disitulikiti ye Wakiso agamba nti yafuna obuvune oluvannyuma lwa mukyala we okumuyiira amazzi agookya wabula bwe yaddukira ku poliisi okuwaaba omusango bamugamba nti asooke aweeyo ssente basobole okunoonya mukyala we.